Luke 22

Yuda Alya mu Yesu Olukwe

1 aEmbaga ey’Emigaati Egitazimbulukuswa eyitibwa Okuyitako yali esembedde. 2 bBakabona abakulu n’abannyonnyozi b’amateeka baali bakola kaweefube okusala amagezi okutta Yesu, naye nga batya abantu okusasamala. 3 cAwo Setaani n’ayingira mu Yuda Isukalyoti eyali omu ku bayigirizwa ekkumi n’ababiri, 4 dn’agenda eri bakabona abakulu n’abakuumi ba Yeekaalu abakulu, n’ateesa nabo nga bw’anaamuwaayo gye bali. 5 eNe basanyuka nnyo, era ne bakkiriza okumusasula. 6Yuda n’akkiriza okuwaayo Yesu, n’anoonya akakisa konna mw’anaamuweerayo gye bali nga tewali kibiina.

Ekyekiro eky’Enkomerero

7 fAwo olunaku olw’Emigaati Egitazimbulukuswa, okuttirwa omwana gw’endiga ogw’embaga y’Okuyitako, ne lutuuka. 8 gYesu n’atuma Peetero ne Yokaana n’abagamba nti, “Mugende mututegekere ekyekiro kyaffe eky’okuyitako, tujje tukirye.”

9Ne bamubuuza nti, “Oyagala tukitegekere wa?”

10Yesu n’abaddamu nti, “Munaaba mwakayingira mu kibuga, mujja kulaba omusajja eyeetisse ensuwa y’amazzi ng’atambula. Mumugoberere okutuuka mu nnyumba mw’anaayingira, 11mugambe nnyinimu nti, ‘Omuyigiriza atutumye gy’oli ng’agamba nti: Ekisenge ky’abagenyi kiruwa mwe nnaaliira Okuyitako n’abayigirizwa bange?’ 12Ajja kubalaga ekisenge ekinene ekya waggulu nga kitegekeddwa bulungi. Omwo mwe muba mutegekera.”

13 hNe balaga mu kibuga, ne basanga buli kimu nga Yesu bwe yabagamba. Ne bateekateeka Okuyitako.

14 iAwo ekiseera ky’okulya bwe kyatuuka, Yesu n’atuula n’abayigirizwa be okulya. 15 jYesu n’agamba abayigirizwa be nti, “Ebbanga eryo lyonna mbadde ndowooza nnyo ku Kyekiro kino eky’Okuyitako, nga njagala nkirye nammwe nga sinnaba kubonyaabonyezebwa. 16 kKubanga mbagamba nti sigenda kuddayo kulya nammwe Okuyitako okutuusa lwe kulituukirizibwa mu bwakabaka bwa Katonda.”

17Awo Yesu n’addira ekikompe ky’envinnyo, bwe yamala okwebaza Katonda, n’agamba nti, “Mukwate, munyweko mwenna. 18Kubanga mbagamba nti, Sigenda kuddayo kunywa ku kibala kya muzabbibu okutuusa ng’obwakabaka bwa Katonda buzze.”

19 lAte n’atoola omugaati, bwe yamala okwebaza Katonda, n’agumenyaamenyamu, n’abagabira ng’agamba nti, “Guno gwe mubiri gwange oguweebwayo ku lwammwe. Mukolenga bwe muti nga munzijukira.”

20 mBwe baamala okulya ekyekiro, n’addira nate ekikompe era mu ngeri y’emu n’akibakwasa ng’agamba nti, “Ekikompe kino ke kabonero ak’endagaano ya Katonda empya ekakasibwa mu musaayi gwange oguyiyibwa ku lwammwe. 21 nNaye muwulire kino. Omuntu agenda okundyamu olukwe atudde wano nange ku mmere. 22 oKigwanira Omwana w’Omuntu, okufa nga Katonda bwe yateekateeka. Naye zimusanze omuntu oyo amulyamu olukwe.” 23Awo abayigirizwa ne batandika okwebuuzaganya bokka na bokka nti ani ku bo ayinza okukola ekintu ng’ekyo!

Empaka ku Bukulu

24 pEra ne batandika okuwakana bokka ne bokka, ani asinga ekitiibwa mu bo? 25Naye Yesu n’abagamba nti, “Bakabaka b’abamawanga bafuga abantu baabwe, n’ab’obuyinza ne babazunza mu kino na kiri, naye abafugibwa tebalina kya kukola wabula okubayita abayambi baabwe. 26 qNaye mu mmwe tekisaanira kuba bwe kityo. Oyo asinga ekitiibwa mu mmwe asaana yeeyisenga ng’asembayo, n’omukulembeze mu mmwe asaana abeere ng’omuweereza wammwe. 27 rMu nsi muno omukungu y’atula ku mmeeza abaddu be ne bamuweereza. Naye wano mu ffe nze muweereza wammwe. 28Naye mmwe mubadde wamu nange mu biseera bino eby’okugezesebwa kwange, 29 sera kubanga Kitange ampadde obwakabaka, noolwekyo mbaatulira kati nti mbawadde ekifo 30 tokutuula n’okulya era n’okunywera ku mmeeza yange mu bwakabaka bwange obwo, era mulituula ku ntebe ne mulamula ebika bya Isirayiri ekkumi n’ebibiri.

31 u “Simooni, Simooni, Setaani asabye okukuwewa ng’eŋŋaano, 32 vnaye ggwe nkusabidde okukkiriza kwo kuleme kukuggwaamu. Era bw’olimala okwenenya, yamba mu kuzimba n’okunyweza okukkiriza kwa baganda bo.”

33 wAwo Peetero n’addamu nti, “Mukama wange, neeteeseteese okusibirwa awamu naawe mu kkomera, era n’okufiira awamu naawe.”

34Yesu n’amuddamu nti, “Peetero, nkutegeeza nti leero ononneegaana emirundi esatu enkoko nga tennakookolima.”

35 xAwo Yesu n’ababuuza nti, “Bwe nabatuma okubuulira Enjiri, ne mutatwala nsimbi wadde ensawo, oba omugogo omulala ogw’engatto, mwalina okwetaaga ekintu kyonna?” Ne baddamu nti, “Nedda.”

36Yesu n’abagamba nti, “Naye kaakano alina ensawo eterekebwamu ensimbi agitwale, n’ensawo ng’ey’omusabiriza bwe mutyo. Atalina kitala, atunde ku ngoye ze akyegulire! 37 yKubanga mbagamba nti kyetaagisa okutuukirizibwa mu nze ekyawandiikibwa nti, ‘Yabalirwa wamu n’abamenyi b’amateeka,’ ebinkwatako biteekwa okutuukirira.”

38Abayigirizwa ne bamugamba nti, “Mukama waffe, wano tulinawo ebitala bibiri!” N’abaddamu nti, “Bimala!”

Yesu asaba ku lusozi olwa Zeyituuni

39 zAwo Yesu n’afuluma mu kibuga awamu n’abayigirizwa be n’akwata ekkubo erigenda ku lusozi olwa Zeyituuni nga bwe yali empisa ye. 40 aaBwe yatuuka eyo n’agamba abayigirizwa be nti, “Musabe Katonda, muleme kuwangulwa kukemebwa.” 41 abYe n’abavaako akabanga ng’awakasukwa ejjinja, n’afukamira n’asaba nti, 42 ac“Kitange, obanga kwe kusiima kwo ekikompe kino kinzigyeko. Naye si nga Nze bwe njagala, wabula ky’oyagala kye kiba kikolebwa.” 43 adAwo malayika eyava mu ggulu n’ajja n’amugumya. 44Yali mu kunyolwa kunene nnyo okw’omwoyo, ne yeeyongera okusaba ennyo n’atuuyana n’entuuyo ezamuvaamu ne ziba ng’amatondo g’omusaayi, era ne gatonnya wansi.

45Bwe yayimuka ng’amaze okusaba n’addayo eri abayigirizwa be, naye n’abasanga nga beebase, olw’ennaku eyali ebakutte. 46 aeN’abagamba nti, “Lwaki mwebase? Muzuukuke, musabe, muleme kuwangulwa kukemebwa.”

Yesu Akwatibwa

47Awo Yesu bwe yali ng’akyayogera, ekibiina ky’abantu ne batuuka nga Yuda, omu ku bayigirizwa be ekkumi n’ababiri, y’abakulembedde. Yuda n’ajja butereevu awali Yesu, n’amunywegera. 48Naye Yesu n’amugamba nti, “Yuda, Omwana w’Omuntu omulyamu olukwe ng’omugwa mu kifuba?”

49 afAbayigirizwa abalala bwe baalaba ekyali kigenda okubaawo ne babuuza Yesu nti, “Mukama waffe, tubateme n’ebitala byaffe?” 50Era omu ku bo n’atemako n’ekitala okutu kw’omuweereza wa Kabona Asinga Obukulu. 51Naye Yesu n’abagamba nti, “Temwongera kubalwanyisa.” N’akwata ku kutu kw’omusajja, n’amuwonya!

52 agYesu kwe kukyukira bakabona abakulu, n’abakulu b’abakuumi ba Yeekaalu, n’abakulembeze b’Abayudaaya abaali bakulembedde ekibiina ky’abantu, n’abagamba nti, “Ndi munyazi, n’okujja ne mujja gye ndi nga mwambalidde ebitala n’emiggo? 53 ahLwaki temwankwatira mu Yeekaalu? Nabeeranga omwo buli lunaku. Naye nammwe eno ye ssaawa yammwe, n’ekizikiza we kiragira obuyinza bwakyo.”

Peetero Yeegaana Yesu

54 aiAwo ne bakwata Yesu ne bamutwala mu nnyumba ya Kabona Asinga Obukulu. Peetero n’agoberera nga yeesuddeko akabanga. 55Bwe baamala okukuma omuliro wakati mu luggya ne batuula okwota; Peetero naye n’atuula wakati mu bo, n’ayota omuliro. 56Omuwala omuweereza n’amulengera ng’omuliro gumumulisizza, n’amutunuulira enkaliriza, okutuusa lwe yagamba nti, “Omusajja ono yali ne Yesu!”

57Peetero ne yeegaana nti, “Omukazi, oyo gw’oyogerako nze simumanyi.”

58Bwe waayitawo akabanga omuntu omulala n’alaba Peetero n’amugamba nti, “Naawe oli omu ku bo.” Peetero ne yeegaana nti, “Nedda, ssebo, si bwe kiri.” 59 ajBwe waali wayiseewo ng’essaawa nnamba, omuntu omu n’ayogera ng’akakasa nti, “Ddala n’ono yali wamu ne Yesu kubanga naye Mugaliraaya.” 60Peetero n’addamu nti, “Omusajja, by’oyogerako sibimanyi!” Peetero bwe yali akyayogera enkoko n’ekookolima. 61 akMu kaseera ako Mukama waffe n’akyuka n’atunuulira Peetero. Peetero n’ajjukira Yesu kye yagamba nti, “Enkoko eneeba tennakookolima ononneegaana emirundi esatu.” 62Awo Peetero n’afuluma okuva mu luggya n’akaaba nnyo amaziga!

Abaserikale Baduulira Yesu

63Awo abasajja abaali bakuuma Yesu ne batandika okumuduulira n’okumukuba. 64Ne bamusiba ekitambaala ku maaso ne bamukuba ebikonde, oluvannyuma ne bamubuuza nti, “Nnabbi! yogera ani akukubye?” 65 alNe bamuvuma n’ebigambo ebirala bingi.

Yesu mu Maaso g’Olukiiko Olukulu

66 amEnkeera mu makya Olukiiko Olukulu olw’Abayudaaya, nga lulimu bakabona abakulu, n’abannyonnyozi b’amateeka, n’abakulembeze b’Abayudaaya, ne lutuula. Yesu n’aleetebwa mu maaso g’Olukiiko olwo.

67Ne bamubuuza nti, “Obanga ggwe Kristo, tubuulire.”

Yesu n’abaddamu nti, “Bwe nnaababuulira temujja kunzikiriza,
68 anne bwe nnaababuuza ebibuuzo temujja kunnyanukula. 69 aoNaye ekiseera kituuse, Nze, Omwana w’Omuntu, okutuula ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda Ayinzabyonna.”

70 apBonna ne baleekaana nti, “Kwe kugamba nti ggwe Mwana wa Katonda?”

Yesu n’abaddamu nti, “Nga bwe mugambye bwe ntyo bwe ndi.”

71Ne bagamba nti, “Ate twetaagira ki obujulizi obulala? Kubanga ffe ffennyini twewuliridde ng’ebigambo bino biva mu kamwa ke.”

Copyright information for LugEEEE